
ANJAGALA Lyrics
- Genre:Afrobeats
- Year of Release:2006
Lyrics
ANJAGALA - Iryn Namubiru
...
Birungo ki byebasa mukwano
Guno ogutusuza nga tutunula
Negukulinya nekubwongo
Ngo musujja
Laba bwegukulesa abazadde
Maama ne taata boyagala enyo
Gwe nogenda noyo
Gwewalaba oluvanyuma
Oyo eyakulira mumaka amalala
Nawe nebakuzaala ewalala
Laba bwemusisinkana
Nemuta ekyama
Laba bwemugabana emitima
Era nemufuuka muntu omu
Hhmmm ebya laavu
Nga byewunyisa
Nze bakwogera nga ageleesa
Nafunye nange omulungi
Nansubiza okunkuba empeta
Antigisiza mikwano
Naboluganada abagambye
Nti teri mulala taliiyo
Nze amusula mbirowoozo
Chorus
Bambi anjagala talimba
Ankakasiza mubyakola
Omutima neguba
Muteefu negutayuuga
Nina kuseesa mukwano
Kwongera ate kumugondera
Okufuna abali ngono
Kyosikyangu *2
Obwesigwa kyamuwendo kyetulina
Enyo okukukuuma
Gwe wooba omusinganye
Yoyo zaabu gwe batenda
Gwoyagala omuwa eddembe
Kimugumya nti oba omwesiga
Nomukwano gwakumira
Temuba mpulunguse
Sijja kufuuka asikaali
Nti nkuuma mwami wange
Oyo katonda eya mumpa
Ajja kumunkumira
Chorus
Bambi anjagala talimba
Ankakasiza mubyakola
Omutima neguba
Muteefu negutayuuga
Nina kuseesa mukwano
Kwongera ate kumugondera
Okufuna abali ngono
Kyosikyangu *2
Anjagala anjagala anjagala
Anjagala anjagala anjagala
Nina kuseesa mukwano
Kwongera ate kumugondera
Okufuna abali ngono
Kyosikyangu
Yeeeaaah
Writer@ [email protected]