NJAKUNOBA Lyrics
- Genre:Afrobeats
- Year of Release:2005
Lyrics
NJAKUNOBA - Iryn Namubiru
...
Ah ah
Uh uh
Ah ah
Uh uh
Okomawo matumbibudde mwami wange
Nze nga nno binnyiye
Nabuli kaseera obwomu bunnuma
N’ekiwubaalo
Nkimanyi oba busy
Naye nange nteeka ku timetable yo ssebo
Onsuuliridde nnyo
Ng’ate okimanyi ndi mukazi wo daddy
Nga kinnuma
Buli kaseera omutwe negumbobba neneetamwa
Nga bintamye
Naye mwami kyuusa kubanga…
Nja kunoba lumu mwami wange
Nja kusibamu ebyange ngende
Emirimu jikusingidde amaka
Nkooye okubeera ng’ekifaananyi
Amazima wotoli nze mbeera sseefuna
Nebyenkola tebijja
Otulo netumbula
Kubanga mba nkumissinga taata
Emmere tegenda
Okujjako nga tulidde ffembi
Kyusaako bambi
Okulumya munno ezo ziba mpisa mbi
Nga kinnuma
Buli kaseera omutwe negumbobba neneetamwa
Nga bintamye
Naye mwami kyuusa kubanga
Nja kunoba lumu mwami wange
Njakusibamu ebyange ngende
Emirimu jikusingidde amaka
Ah ah
Uh uh
Ah ah
Uh uh
Mukwano munnange (Uhh)
Tegeera kyengamba
Omutima ogumenyese
Nga guluma okufa
Kati ndi ku muliro (Ndi ku muliro)
Nzijja nzigwaawo (Nzigwaawo)
Funawo kyokolawo nawe (Kyokolawo)
Nga sinnasaanawo, ohh
Nja kunoba lumu mwami wange (Uh nze)
Nja kusibamu ebyange ngende (ngende)
Emirimu jikusingidde amaka (Nkooye)
Nkooye okubeera (Nkooye) ng’ekifaananyi (Nkooye)
Nja kunoba lumu mwami wange (Uh nze)
Nja kusibamu ebyange ngende
Emirimu jikusingidde amaka(go)
Nkooye okubeera ng’ekifaananyi
Nja kunoba lumu mwami wange (Uh nze)
Nja kusibamu ebyange ngende
Emirimu jikusingidde amaka (Nkooye)
Nkooye okubeera (nkooye) ng’ekifaananyi (nkooye)
Nja kunoba lumu mwami wange (Uh nze)
Nja kusibamu ebyange ngende
Emirimu jikusingidde amaka(go)
Nkooye okubeera ng’ekifaananyi