
Nkwegomba Lyrics
- Genre:New Age
- Year of Release:2019
Lyrics
Nkwegomba - Kenneth Mugabi
...
Nsikirizibwa okusemberera
Nzikiriza nkusemberere
Nsikirizibwa okutunuulira
Oli kifaananyi kyebatanasiiga
Katonda yawunda gwe ne yewuunya!
Nsikirizibwa okukwatako ho
Aah nedda
Tonfuna bubi nze munno
Nkwegomba nkulabamu abalongo
Abalina amaaso ng’agago
Aah nkwegomba nkwegomba
Ba kuntondera ba kuntondera
Aah nze akusaanira nze akusaanira
Nkwegomba nkwegomba
Nsikirizibwa okusemberera
Buli lw’obeerawo obukuumi bwe mpulira
Nsikirizibwa n’okuwuliriza
Aah bw’oyogera zaabu y’afuluma
Buli lw’oseka mirembe gye mpulira
Nnyumirwa nnyo nga mpuliriza babe
Yongera onsese nze no nnyumirwa
Aah gulina obutiti okumye omuliro
Nsikirizibwa n’okkuba maama akaama
Nkwegomba nkwegomba
Ba kuntondera nze ba kuntondera
Nze akusaanira nze akusaanira
Nkwegomba nkwegomba