Make A Difference Lyrics
- Genre:Afropop
- Year of Release:2021
Lyrics
Make A Difference - Rema Namakula
...
Uuuuuuuuhhhh...
Where everyone is accountable
Everyone wins...
Bino mbitunuulira bikaabya n'amaziga
Ekikwatta ku baana kimennya n'omutima
Nze ndi maama,so neba maama byebayitamu okuzaala mazima mbimannyi eyo..
Abakazi 18 baffa,buli lunnaku nsonga yakuzaala
Olw'obwaavu n'embeera etayogereka
Bannakazadde b'eggwanga..ooohhh
Anti amalwaliro nga temuli bakuggu
Ate bwebaba bakuggu,tebalina bikozesebwa
Byayitamu okutuuka lw'azaala
N'embeera mw'azaalira bibinyoo...
CHORUS
We can make a difference
You and me,and everyone else..eyee
Before its wicked
The champions save,motherhood in our land
Nzijjukira Serrah,gwetwasoma
Yali mukwano gwange nnyo
Yali mugezi mu ssomero
Nga n'ebirabo awangula
Naye,lwaali olwo,yafuna olubuto
Ku ssomero nebamugoba
Ne bazadde be nebamugoba
N'omusajja n'amwegaana
Yasigala mu bbanga,nga talina ayamba
Ng'obuyambi bunaava wa?
Ng'eddagala linaava wa?
Kyokka olubuto lwo nga lukula
Yakwatta bus mpakka Kitoko,ewa Jjajja we yayaniriza
Kyokka eddwaliro nga Mailo 8
Era yanywa muddo,entambula ngatalina
Yadde abamu eyo bawona naye Serrah bambi ye teyalutonda
N'aleka omwana,yamuleka akaaba
REPEAT CHORUS*2
Nkuba omulanga,government ekole
Obuvunaanyizibwa bwayo kale butuuke
Amalwaaliro gabeemu eddagala n'ebikozesebwa,obulamu butaasibwe
Kubanga kiruma,ekintu ekitono,nekivaako obuzibu obunnene..kiti
Abakyala abafiira mu mukuzaala bataasibwe,abaana bakule nga balimu endasi
Omukyala ow'olubuto atafuna buyambi,n'omwana bw'azaalibwa era kimukosa
Alwaalalwaala,n'oluusi okuffa
Ba maama betaaga kuyamba nnyo
REPEAT CHORUS
Ekibakwatako,nze mbasaba kitereeze
Kyebaba n'abaana wanno wekituuse wazibu
Gavumenti nsaba ekitwaale ng'ensonga
Teweyibaala tomannyi gyekigweera
Nkuba omulanga,abaami baffe
Mutuyambe mutuwerelerengako okunywa eddagala
Where everyone is accountable
Everyone wins