
Nwanira Lyrics
- Genre:Gospel
- Year of Release:2021
This song is not currently available in your region.
Try the alternative versions below.
Alternative versions:
Lyrics
Nwanira - Judith Babirye
...
Hmmm ooh oh
Eeeh
Nwanira
Tobaganya kunsekerera (oh)
Abayigganya emmeeme yange (Mukama)
Baagala kunzikiriza (Mukama)
Nsaba nwanira (hmmm)
Otegulule emitego gyabwe (ooh)
Nsaba obakwase ensonyi (ooh)
Onyweze ebigere byange
Nkoowoola Mukama
Mu mbeera eno gye mpitamu
Laba nkukoowoola
Ojje onnyambe
Nzirukira gyoli
Taata simanyi kulwana
Oh laba abalabe
Laba eggye linnumbye
Ndabamu emikwano
Taata bwe twasekanga
Kati bipande
Abalagirira abalabe abannoonya
Ooh ddala kiki ekikyusa emitima?
Taata simanyi kulwana
Balabe tobaganya kunsekerera
Nwanira nze
Nwanira (nwanira nze Mukama)
Tobaganya kunsekerera (ooh)
Abayigganya emmeeme yange (banjigganya)
Baagala kunzikiriza (baagala kunzikiriza Mukama)
Nsaba nwanira (nwanira kitange)
Otegulule emitego gyabwe (ooh)
Nsaba obakwase ensonyi (ssebo)
Onyweze ebigere byange
Oh basimye n’ebinnya
Ne bateekamu amafumu taata
Baagala ngwe omwo
Nsiraane munnange
Basala n’amagezi
Bamalewo akatono ke ninawo
Oh nsaba Mukama, obateekeko eriiso
Oh ddala yalaga wa?
Malayika eyakuba Misiri taata
Oh mbuuza yalaga wa?
Malayika eyakuba Yeriko
Gwe maanyi ga Yakobo
Gwe maanyi ga Dawudi taata
Oh ssebo golokoka
Onnyambe otegulule emitego gyabwe
Nnyamba Mukama
Nwanira (nwanira)
Tobaganya kunsekerera (tobaganya kunsekerera)
Abayigganya emmeeme yange (tobaganya kunsekerera)
Baagala kunzikiriza (nwanira olutalo)
Nsaba nwanira (nwanira kitange)
Otegulule emitego gyabwe (tegulula)
Nsaba obakwase ensonyi (ooh eeh)
Onyweze ebigere byange
Oooh
Eeeh
Oooh
Nkukoowoola
Uuuh
Hmmm
Abakwesiga Mukama balinga Sayuuni olunywevu
Terunyeenya luli olusozi
Lulina Katonda ow’amaanyi
Nebweriba nnyanja myufu
Mukama aliteekawo ekkubo (aliteekawo ekkubo)
Abange nebweriba ndwadde nkambwe
Mukama alituwonya bannange (alituwonya bannange)
Ooh kati abalabe bange kabajje
Nze ka ngwe mu mikono gya Mukama
Taata, taata tobaganya kunsekerera obakwase ensonyi
Tobaganya kunsekerera obakwase ensonyi
Tobaganya kunsekerera bakwase ensonyi
Kati golokoka oyambale amaanyi obakwase ensonyi
Tobaganya kunsekerera bakwase ensonyi
Oh kwata engabo tabaala olutalo luntuuse
Tobaganya kunsekerera bakwase ensonyi
Oh tobaganya kunsekerera ssebo eyampita
Tobaganya kunsekerera bakwase ensonyi
Oh Mukama tobaganya, tobaganya
Tobaganya, tobaganya kunsekerera
Tobaganya kunsekerera bakwase ensonyi
Tobaganya kunsekerera Mukama
Tobaganya kunsekerera bakwase ensonyi