Siryerabira Lyrics
- Genre:Gospel
- Year of Release:2021
Lyrics
Siryerabira - Twina Herbert
...
Neewuunya okwagala kwo nze
Okwagala nga kungi gyendi
Bwe ntuula ne ndowooza kw’ebyo
By’okoze olw’erinnya lyange
Kakubo kaaliwo akadduka omusaalaba
Wakalaba naye tewakakwata
Nzijukira lwe wakaaba ng’olabye ako akakubo
Era tewakakwata
N’okkunakkuna ng’endiga mpolampola
Sso ng’ogenda mu lufula
Yadde ekiso wakiraba tewayimirira
Yadde watya wasigala otambula
Bwe ntuula ne ndowooza kw’ebyo
By’okoze olw’erinnya lyange
Bwe ntuula ne ndowooza kw’ebyo
Ne nzijukira
Ddala ani atajjukira? (ani oyo?)
Ani oyo atasinza? (labayo)
Nze siriyinza kumwerabira (taata, taata)
Ennaku, zange zonna (ddala ani?)
Ddala ani atajjukira? (ooh)
Ani oyo atasinza?
Nze siriyinza kumwerabira (taata, taata)
Ennaku, zange zonna
Neewuunya okwagala kwo nze
Okwagala nga kungi gyendi
Bwe ntuula ne ndowooza kw’ebyo
By’okoze olw’erinnya lyange
Kakubo kaaliwo akadduka omusaalaba
Wakalaba naye tewakakwata
Nzijukira lwe wakaaba ng’olabye ako akakubo
Era tewakakwata
N’okkunakkuna ng’endiga mpolampola
Sso ng’ogenda mu lufula
Yadde ekiso wakiraba tewayimirira
Yadde watya wasigala otambula
Bwe ntuula ne ndowooza kw’ebyo
By’okoze olw’erinnya lyange
Bwe ntuula ne ndowooza kw’ebyo
Ne nzijukira
Ddala ani atajjukira? (ani oyo?)
Ani oyo atasinza? (ani, nze siriyinza)
Nze siriyinza kumwerabira (na na na na, ddala ani?)
Ennaku, zange zonna (ddala ani?)
Ddala ani atajjukira? (ani, ani oyo?)
Ani oyo atasinza? (abange)
Nze siriyinza kumwerabira (nedda bambi)
Ennaku, zange zonna (hmmm)
Ooh
Ooh, eeh
Siryerabira
Siryerabira
Mukwano gwange ono
Siryerabira
Bye yakola ku lwange
Siryerabira
Abange, siryerabira
Siryerabira
Laba, nze siryerabira
Siryerabira
Omusaayi gwe wayiwa
Siryerabira
Gwayiika ku lwange
Siryerabira
Saddaaka gye wakola taata
Siryerabira
Wagikola ku lwange
Siryerabira
Abange, siryerabira
Siryerabira
Siryerabira bambi
Siryerabira
N’oswala, swala swala…
Siryerabira
Nnyambale ebitiibwa
Siryerabira
Kibooko ze wakubwa eyo
Siryerabira
Zimponya taata,
Siryerabira
Zimponya, abange
Siryerabira
Siryerabira
Siryerabira
Wakkiriza ofe
Siryerabira
Nze nfune obulamu taata
Siryerabira
Nafuuka mwana
Siryerabira
Oli taata, nafuuka mwana
Siryerabira
Nebwendiba nga nkuze bambi
Siryerabira
Olibeera taata
Siryerabira
Siryerabira
Siryerabira
Oooh
Siryerabira