Mwoyo Tonta Lyrics
- Genre:Gospel
- Year of Release:2021
Lyrics
Mwoyo Tonta - Twina Herbert
...
Twatandika babiri
Ne mukwano gwange
Nga yampa amaanyi
Kwe kutuuka eno
Twatandika babiri tuti
Ne mukwano gwange
Nga yampa amagezi munnange
Kwe kutuuka eno
Naye, nawulidde wanyiize
Omwoyo wanyiize
Mbu ate ogenda
Nkusaba tondekaawo awo
Nawulidde wanyiize
Omwoyo wanyiize
Mbu ate ogenda
Nkusaba tondekaawo awo
Munnange (tonta)
Munnange (mwoyo wa Mukama tonta)
Tonta (tonta)
Katonda (mwoyo wa Mukama tonta)
Tondeka (tonta)
Tondeka (mwoyo wa Mukama tonta)
Sisobola wootali (tonta)
Sisobola taata (mwoyo wa Mukama tonta)
Ndi munafu tonta (tonta)
Tonta (mwoyo wa Mukama tonta)
Oli magezi gange (tonta)
Sisobola, sisobola, sisobola
(Mwoyo wa Mukama tonta)
Nkwegayiridde (tonta)
Mwoyo wa Mukama tonta
Mwoyo
Ndi lusiriŋŋanyi
Munafu asembayo
Wali wannyambala
Nga tebalaba bunafu bwange
Bampita w’amaanyi gye mpita
Bampita w’amaanyi gye nsula
Bampita w’amaanyi lwa mwoyo
Naye tebamanyi
Ndi kawuka kokka
Buli ayagala y’akuba
Era amaanyi ge nina
Mba neekwese mu gwe
Jjukira bwe tuvudde ewala
Jjukira bwe wannyambaza ekisa
Jjukira bwe wannyanjula mu banene
Mwoyo tonta
Tonta (tonta)
Tonta (mwoyo wa Mukama tonta)
Ensi ejja kunjuzaayuza (tonta)
Nedda taata (mwoyo wa Mukama tonta)
Ebizibu by’ebingi bizze eno (tonta)
Ŋumira ku gwe (mwoyo wa Mukama tonta)
Abalabe bangi (tonta)
Kyokka bangi (mwoyo wa Mukama tonta)
Tonta (tonta)
Ndi munafu wootali (tonta)
Eeeeh (tonta)
Mwooooyo (mwoyo wa Mukama tonta)
Aaah ah
Sisobola wootali
Okimanyi taata
Ndi munafu wootali
Okimanyi nti
Sisobola wootali
Mwoyo tonta
Bw’ondeka ŋenze
Sisobola wootali
Ŋenze bw’ondeka mpedde
Ndi munafu wootali
Ngya kufa okimanyi
Sisobola wootali
Mwoyo
Mwoyo tonta
Tontaaa
Tontaaa
Tontaaa
Tonta
Mwoyo wa Mukama tonta
Tutambule babiri taata (tonta)
Tutambule babiri munnange (tonta)
Bye nnyimba bikola wooli (tonta)
Bye mbuulira nga wooli (mwoyo wa Mukama tonta)
Tuwangule babiri munnange (tonta)
Mwoyo wa Mukama tonta