![Ba Yuda](https://source.boomplaymusic.com/group2/M00/3F/6D/rBEeNFljd9-AaC5_AADd5Nnrb3I034.jpg)
Ba Yuda Lyrics
- Genre:Afrobeats
- Year of Release:2016
Lyrics
Ba Yuda - Jose Chameleone
...
Bayuda tuyita nabo, ........Nabo
Balala tuseka nabo, ......... Nabo
Olw'ekisa tugabana nabo, ...Nabo
Tubamanyi butabagamba, …butabagambaa
X2
Kiruma nga gw'oyita mukwano gwo ennaku yo agifudde essanyu, obadde omwesiga, abadde akweyuna, bambi buli lw'abadde mu nnaku.
Kati lupiiya amusingidde omukwano,
mubadde bataayi naye kati kacwano,
ekinneewuunyisa, bannaffe abatusuuta, tebandibadde abo ate ne batutunda.
Toggwamu ssuubi be yalyanga nabo ku mmeeza baamutunda abiri gokka aga feeza. Wulira bino.....
Bayuda tuyita nabo, ........Nabo
Balala tuseka nabo, ......... Nabo
Olw'ekisa tugabana nabo, ...Nabo
Tubamanyi butabagamba, …butabagambaa
X2
Butamanya waliwo abaatusookawo, nga tuzaaye waliwo abalibeerawo, ebitumalamu byo twabisangawo. Naye nno lulikya lumu byonna ne tubirekawo.
Kiruma munnoowo nga y'akuvuddemu, banka y'ebyama byo ajaabuluddemu,
bagendeko mpola abasinga be bamu.
Ekinneewuunyusa, bannaffe abatusuuta tebandibadde abo ate ne batutunda,
Toggwamu ssuubi, be yalyanganabo, ku mmeeza, bamutunda abiri gokka aga feeza. Wulira bino.
Bayuda tuyita nabo, ........Nabo
Balala tuseka nabo, ......... Nabo
Olw'ekisa tugabana nabo, ...Nabo
Tubamanyi butabagamba, …butabagambaa
X2
Tubenga benkanya abange bwe kisaana,
twegenderezenga abangi abatuwaana, bennyini abatuwaana ate be batukiina,
ne bw'okola amakula tebasiima, obulimba bubasingira omukwano. Mubadde bataayi kati kabwa na ngo, ekinneewuunyisa bannaffe abatusuuta tebandibadde abo ate ne batutunda,
Yiii mwana adam mutadde tebambuuza lwaki mutadde
Mwana adaamu musudde, Ayagala ensonga nkwanukule wulira bino
Bayuda tuyita nabo, ........Nabo
Balala tuseka nabo, ......... Nabo
Olw'ekisa tugabana nabo, ...Nabo
Tubamanyi butabagamba, …butabagambaa
X2
Bayuda tuyita nabo, ........Nabo
Balala tuseka nabo, ......... Nabo
Olw'ekisa tugabana nabo, ...Nabo
Tubamanyi butabagamba, …butabagambaa
X2