Omugaati Lyrics
- Genre:Gospel
- Year of Release:2022
Lyrics
Omugaati - Coopy Bly
...
Omugaati lyrics by Coopy Bly
Aha
Engano hmm
Exodus 23:8
Onyambanga, onyambanga,
Onyambanga, Onyambanga
Omugaati guleme nga kunziba mumwa,
Gunemesse Okwoogera amazima
Onyambanga, onyambanga,
Onyambanga, onyambanga
Enjaala ne bweba enzitta,
Neme kutunda busiika!
Ehh
Kati Omugatti gulabe dukka
Abadde tagumanyi
Nkusaba ssembeza Entebbe
Omugatti twasooka na kugulaba
Mu biseera Bya Christo
Nga asiibye enjala emuluma,
Omubi Sitani bweyasembera okumukema,
Mugaati gweyakozesa
Mu bwangu tudamu okugulaba
Nga Yesu abuliira njiiri
Ekibina enjaala neluma!
Kwoolwo omugatti kale olwagabwa,
ekibina enkeera kyakula omugatti toguzanyisa
Tutwo mu French revolution,
munjaala era omugatti yeyali solution
Marie Antoinette agenda azanyira mugatti,
Enkeera kumakya yakeera ku execution!
Kulwo mugatti Amazima go gabula,
Abantu ensonyi Zikala
Ha Wabula omugatti twajilwaa!
Onyambanga, onyambanga,
Onyambanga, Onyambanga
Omugaati guleme nga kunziba mumwa,
Gunemesse Okwoogera amazima
Onyambanga, onyambanga,
Onyambanga, onyambanga
Enjaala ne bweba enzitta,
Neme kutunda busiika!
Ha!
Wano mu kyasa kye 2000
Omugaati gwatabusse kati negubula asaala
Gwajja gutambula mpola mpola
Gugwoo gusaze ensalo paka mukanisa,
Mukanisa nti gwaagwa ku mudinkoni
Olutalo lwo mutaputa welwava no mudinkoni,
Mudinkoni ye yalina akagatike
Ngalina akabinjake omugaati balya bakutta
Kati nayonoona nakuna kuna
Nga teli amugambako
Kuba omugaati bagulya
Ha!
Laba omutaputa ye bwatabuka,
Ah ah kino kisuse amazima ndi wakugata
Naye omutaputa olwaali okwasama
Omugaati bamupatika amazima negabula
(Cough) actually,
Omusajja wakatonda talina buzibu yadde,
Mwe temwategedde,
Yabadde birthday
Ehh Yesu
Onyambanga, onyambanga,
Onyambanga, Onyambanga
Omugaati guleme nga kunziba mumwa,
Gunemesse Okwoogera amazima
Onyambanga, onyambanga,
Onyambanga, onyambanga
Enjaala ne bweba enzitta,
Neme kutunda busiika!
Acha cha cha cha
Omugaati ttabu yenyini,
Kamasu ka sitani kenyini
Muno mwayita okuba pulani
Okukutula zi mission enene
Okubba, okutta,
Nti bwatyo nokutusubya eggulu
Omugaati olumu guba gwa nganoo,
Gwa nussu, olulala guba gwabiffo
Naye mukama omubiri gwe wagukola,
Enjaala bwetuluma omugaati guba guyooya
Kati Mukama nkusaba baako kyokola,
Bwotakikola omugaati gwa ku tutugga!
(Ani alinye muwaya? Anioyo? Oyo yalidde)
Fire!
Twookya omugaati abagulya baswankula,
Twookyela ddala omuliro mwe abagulya bagubirira
Mulinga abataamanya,
Nti waliwo gwe gwatugga,
Yuda Eskarioti ne Ananiya,
Olwaagulya tebawoona
Nti naye nga nkwebaaza,
Kulwabatono abaguuma
Zze munyenye mubanga ffe zze tuba tutunulira,
Laba Yesu yagudduka, Yozefu yagudduka
Saddulaaki,Mesaki ne Abeduneego,
Omugaati bbo tebagulya
Nga obulamu bunyigga,
Enjaala nga ebuula okunziita,
Nyweeza nga Yozefu,
Omugaati bwengulaba ngudduke ayi!