Weetunulemu Lyrics
- Genre:Hip Hop & Rap
- Year of Release:2023
Lyrics
Weekuba obukonde mu bufuba nga weejaga
N'odda ku bantu n'owewa n'obapima pima
Okyeyisa otyo naye ensi eri kugunjula
(Josh King)
Genius Omuzira
Kati kino kimanye, Ssi gwe wa kitalo asoose
Nkulaba omera ku bantu naye, Weetunulemu
Bw'owulira nti emirembe ngalo, Muli okirowooza ko ki?
Nze kyenva nkugamba, Weetunulemu
Aaah aah ne bw'obeera kanyama nga tomegga olerula
Lw'olifa ssi gwe agenda okwesitula
K'obe muwanvu nga teweetaaga kukangabala
Manya tosobola kulengera binaaba wo nkeera
Okulengezza abantu osaanye obeeko w'okoma
Tojudginga katabo lwa ddiba nga tonnakasoma
Okuduula n'okujerega tobifuula mugano
Era otegeere nti ekisuula omuntu kitono
Ab'amalala ensi ebagabana nga bw'esanze
Nga oyagala ekugondere ba wa mpisa mwetowaze
Bye weekaninkirira abaabisooka mu baazaawa
Kati nno funa minzaani weepime mu obenkana wa
Te twakalaba ba naggwano abatagambwa ko
Emirembe ngalo tuula okirowooze ko
Abakuwaana n'ogaziwa magoma gavugira aliwo
Gwe linda kulaba nga bye bakwagala ko biwedde wo
Kati kino kimanye, Ssi gwe wa kitalo asoose
Nkulaba omera ku bantu naye, Weetunulemu
Bw'owulira nti emirembe ngalo, Muli okirowooza ko ki?
Nze kyenva nkugamba, Weetunulemu
Yadde oli mulungi mweru nga wenna otiba butibi
Ekisiikirize manya olina kiddugavu nga ate kibi
Sigaanyi weyonja onaaba buli kaseera
Kiki ekiddugaza towel nga ogyesiba otukula?
Thermometer ya degree kikumi ekola mu nkwawa
Gwe olina kamu kokka naye weenyumya n'otunyiwa
Kuva lwe nayiga nti ensimbi tezizza bulamu
Ne nsala omuliro kw'ebyo ebitwemaza mu
Weetwala okuba nti oli wa higher class
Tuuka ko mu ggwanika oba muli mu special place
Ku ba byomera abafiira mu bugagga obutokomoka
Olaba ani gwe basibirira emmaali ye nga bamuziika?
Gwe ajojobya abantu nga oggya obabba ko amataka
Tubuulire qabr obugazi ecre bapima mmeka?
Naggagga olina emmotoka nnyingi ewuwo
Kiki okugenda ku kitanda w'osula otambula wo?
Kati kino kimanye, Ssi gwe wa kitalo asoose
Nkulaba omera ku bantu naye, Weetunulemu
Bw'owulira nti emirembe ngalo, Muli okirowooza ko ki?
Nze kyenva nkugamba, Weetunulemu
Leka kulowooza nti oliba wa maanyi lubeerera
Eno dunia tuyita mu buyisi ssi ya kukungula
Gwe omulogo ensi gw'ekungiriza bw'otagooka
Tolowooza nti toligenda b'otta gy'obasindika
Toŋoola muntu lwa kikula oba lwa ndabika
Ssi gwe afulumya calendar y'omutonzi ey'entegeka
Ba wantono obakka ko n'ojooga ne weerabira
Nti be balikuzinga nga ba masebbuto basumagira
Ogwo omumwa gw'otafuga buli muntu n'ogeyengula
Ninze kulaba nga bakusibye akaba oba gwogera
Akuumibwa ekikungu n'olagira abalala battibwe
Gwe twakuva ko twasigala kunyenyeza mitwe
Naye manya te twakalaba abatagambika ko
N'olwekyo weekube mu torch nga okyali ko
Ensi ekutadde ko eriiso lwa kuba ekyakuterese
Tolaba ennyanja okuteeka n'olowooza nti ggoonya zikkuse