Weezuule Lyrics
- Genre:Hip Hop & Rap
- Year of Release:2024
Lyrics
Mwoto Sound
Baur
Nga oyagala okuwangaaza omusibe mu kkomera
Fuba kimu aleme kutegeera nti ali mu kaduukulu
Bakira obulimba ne bwe bulwa wo tebufuuka mazima
Genius Omuzira
Manya Omutonzi ky'akwagaza, Weggye mu busibe bw'endowooza
Weeyise nga bwe watondebwa, Otegeere ky'oli weezuule
Obutonzi bw'ononya buli mu ggwe, Vva mu kuwangaalira ku kikwate
Omwana w'omuddugavu, Tegeera ky'oli weezuule
Buli lw'oligaana okukozesa amagezi go amazaale
Manya waliyo agenda okugeyambisa akutegeerere
Eno ensi we kakutandira omutwe gwo ne gukuva mu
Okusurvivinga omubiri gwonna gukafiira mu
Kuno ku nsi twasindikibwa ko lwa kigendererwa
Naye olw'obutafaayo kwemanya abamu twezibira
Omutonzi yatwambaza emibiri nga alina ky'atwagaza
N'atuweera ko ebitone tusobole okituukiriza
Buli omu yakuteeka teeka n'akussa w'akwagala
N'akutegeka mu nambiko obuyite bwo gye busaanira
Teri alina buyinza kukukyusa mw'ekyo ky'oli
Era tokkiriza nga oli kuyingiza mu ekyo ky'otali
Obuyinza bwa Katonda olina kubwezuula mu ggwe
Ky'ekyakuweesa emmeeme n'amagezi ofumiitirize
Katonda tali mu bitabo nga bwe bamukulowoozesa
Olina kumuyiga ku lulwo ssi kulinda mukusomesa
Manya Omutonzi ky'akwagaza, Weggye mu busibe bw'endowooza
Weeyise nga bwe watondebwa, Otegeere ky'oli weezuule
Obutonzi bw'ononya buli mu ggwe, Vva mu kuwangaalira ku kikwate
Omwana w'omuddugavu, Tegeera ky'oli weezuule
Ekiriisa enkoko omuddo bubeera budde kuziba Weesumulule ekikookolo ky'obulimba kye baakusiba
Waalimpita omugwagwa era bw'otyo n'ongwengula
Naye manya enswera ekwagala
Ensi zaabwe bakola nnyo zibe eggulu lya buli omu
Gwe eriryo baakusuubiza kumala kufa olituuke mu
Okwetuukiriza ogenda waabwe gy'okukolera
Katonda gwe bakusomesa nnimi zaabwe z'ategeera
Talent n'amakulu go mu nsi mu ggwe mwe bifiira
Anti ne ky'osobola okukola okijuliza ssaala
Okwetukuza weeyawula ku bintu by'ensi byonna
Omutonzi waabwe akwagalira awo nga obonaabona
Tolina kukozesa magezi ge waweebwa kwerowooleza
Olina kugondera kya mu kitabo yadde kikunyigiriza
N'enzikiriza okugiyingira tekubeera kweyagalira
Bakusenda senda lwa mpaka nga bakutiisa mu bye babuulira
Manya Omutonzi ky'akwagaza, Weggye mu busibe bw'endowooza
Weeyise nga bwe watondebwa, Otegeere ky'oli weezuule
Obutonzi bw'ononya buli mu ggwe, Vva mu kuwangaalira ku kikwate
Omwana w'omuddugavu, Tegeera ky'oli weezuule
Gondera Omutonzi mw'ekyo kye yakuwa okubeera
Endaga butonde yo entuufu bwe buwangiro mwe wakkira
Tosindikirizibwa kugoberera buufu butali bubwo
Kye wazaalibwa oli mwe muli amakulu g'obulamu bwo
Ensi komya okugitunuulira nga ogirabira ku ngulu
Okufumiitiriza ebikugambibwa kitwale nga kikulu
Lowooza nga nnyo ku akulumirirwa biki by'aluubirira
Oluvannyuma weebuuze bw'akuyamba wa w'afunira?
Ffe twasangibwa tuli bantu abateeke teeke abategeera
Nga tulina ennono n'empisa ebitasangika walala
Olukalu lwaffe nga twalufuula ensi eyenyumiriza
Ne zireeta abavumirizi ne batukosa mu ndowooza
Kati okwetuukiriza kw'afuuka kwa ssekinnomu
Bulungi bwa nsi byava wo buli omu ali ku lulwe
Society zaggwa mu ensa ba kaggwa ensonyi ne bameruka
So nga twali mu nsi esukka ku kwerowooza ko wekka
Kati nno ky'ekiseera buli omu amaaso ogazibule
Osike empuluttulizo eyakusibwa ku bwongo weenunule
Ozuukuse obuyinza obusumulula entegeera yo
Abuulira omugezi bagamba?!
Manya Omutonzi ky'akwagaza, Weggye mu busibe bw'endowooza
Weeyise nga bwe watondebwa, Otegeere ky'oli weezuule