
Maria Nnyaffe Otuyambe Lyrics
- Genre:Gospel
- Year of Release:2020
Lyrics
Maria Nnyaffe Otuyambe - The Cherubim Chamber Chorale
...
Maria nyaffe otuyambe
ennaku zitusanze otuwolereze
ennaku zitusanze otuwolereze
Tuzze jooli Ayi Bikira nnyafe,
tuvunamye ffena mumaaso go
, tegga okuttu muwolereza waffe,
owulire esaala zabaana bo
Maria nnyaffe otuyambe
ennaku zitusanze otuwolereze
ennaku zitusanze otuwolereze
Laba ebyalo biweddemu abantu,
enju nnyinji leero bifulukwa,
tuwulira ebiwoobe ne nduulu
tunaddawa gwe bwototuyamba
Maria nnyaffe otuyambe
enaku zitusanze otuwolereze
, ennaku zitusanze otuwolereze
Twayonoona gwe wama gutusinze,
nae leero tumenyese emyoyo
jja amaaso go ku bibi byetukyaaye
tusaasire nga ojja mu kisa kyo
Maria nnyafe otuyambe,
ennaku zitusanze otuwolereze
ennaku zitusanze otuwolereze
Ayi Mukama watutonda gwe nnyini,
Notubumba ffena nengalo zzo
werabire nga bwetuli abonoonyi
nojjukira nga tuli baana bo
Maria nnyafe otuyambe
ennaku zitusanze otuwolereze
ennaku zitusanze otuwolereze
Bwoba ogaya maziga getukaaba
ngomwana wo yakuwanjagira
tunuulira ebiwundu bya Yezu
Notagana kusasira bantu
Maria nnyafe otuyambe,
ennakunzitusanze otuwolereze
enaku zitusanze otuwolereze
Ayi Mukama omutonzi wabyona
byolagira biwulira mangu
obulwadde bujja okumala abantu
bukumeko ffena tunawona
Maria nnyafe otuyambe
ennaku zitusanze otuwolereze
ennaku zitusanze otuwolereze