
Changes ft. Ebrahim Soul'O Lyrics
- Genre:Hip Hop & Rap
- Year of Release:2020
Lyrics
Nkyuuse nfuuse omusajja
Nnoonya jjamba ebisiko nsamba
Oluusi nkoowa oluusi nsooba
Omunaku tadooba nga y'ettaala
Emulisa ebisenge nzuule ekyama
Wampa ekigezo mu kamwa kikaawa
Amatama ntengo
Nkutte olweyo njerewo emisango
Naye ate omugongo mpango
Kaakyama amamera olugero
Alumanyi nkimanyi anjulira
Mpulira bulungi okugwa mu mukwano
Wayita ssaawa omutima
Ngusudde muguluka mpaala
Mbaala naye nga amazima kuswala ntaawa
Olumu ne nkaaba
Ngamira kubunira nsobole
Okuseka n'oyo gwe mmanja
Ensi eno endiisa kakanja
Enkoona nninga mupiira siva mu bbanga
Ekinnyonyi ekiriko wuzi
Omuddu alinze omuguzi
Nkuguze amannyo obulamu ompeemu ensujju
Olabika onkoona onzigyemu
Emputtu onzigyemu omukka
Mbuuka nzira mu mikono gyo
Mpuuta na mazzi
Nwaana na mazzi nga avudde ku Templar
Nnalubaale nayo yiiyo ebooze
Engobayo ku lukalu nninga omulalu
Changes changes
Tidiboneka
Tidiboneka
But they drive you crazy
But they drive you crazy
Ate nga odetaaga
Ate nga odetaaga
Changes changes
Tidiboneka
Tidiboneka
But they drive you crazy
But they drive you crazy
Ate nga odetaaga
Ate nga odetaaga
Nali muto kati nkuze
Enkuyege zikyankubira enduulu
Nga nfudu z'e Mmengo
Ebigambo bye byandya omwoyo
Ntakula obwongo ndabe kye ntuukako
Oluzza emabega nkoko mu ssaati
Nkooye singa ataggwa siri w'e Ssingo
Ebikutte mbikube dabolo dabolo Vicks Kingo
Nsobola okufuuka ensonga
Ntuuke mu buli nsonda
Lwoya ndwejja olw'enkya simanyi alimpa
Njiiya nnoge kye nnaalya
Abatta abammwe musigaze emmaali
Amagalo singa gakyuusa kalangi
Mugwana buswanyu ku maaso
Mukaabe musaayi
Mukaabe musinge emiyaayu
Uganda njagala ekyuuke mu bwangu
Nkooye abalwanyi balanga biwoobe
Nkyali ku luwaya
Olukka ekibanyi kigwa n'amenvu
Nga nze omufuzi omuggya
Abaliko mbamanyi enfumita
Mpita mu ddirisa
Uganda ngitaase enzikiza.
Ani oyo eyabba omusana agukweke e buziba
Yatuziba amaaso tulabise amannyo
Kati nno ndabuse sitayiro nkuleka okyuuse
Nkuleka oyimuse ensiyo sisimuka ogyezze
Changes changes
Tidiboneka
Tidiboneka
But they drive you crazy
But they drive you crazy
Ate nga odetaaga
Ate nga odetaaga
Changes changes
Tidiboneka
Tidiboneka
But they drive you crazy
But they drive you crazy
Ate nga odetaaga
Ate nga odetaaga