
Kye Kiseera Ky'okusaba Lyrics
- Genre:Spirituals
- Year of Release:2000
This song is not currently available in your region.
Lyrics
Kye Kiseera Ky'okusaba - Enyimba Za Kristo Singers
...
Kye kiseera ky'okusaba,
Tuve ku bigambo by'ensi;
Tugende eri Kitaffe
Tutwal(e) obuzibu bwaffe.
Mu biro by'entalo zaffe,
Tuwebwe okuwummula,
Atuwonye omulabe,
Tulyoke tumusinzenga.
Kye kiseera ky'okusaba,
Ntwala ebigambo byange,
Eri Oyo omwesigwa,
Asanyusa abetaga,
Atagoba bajja gy'ali.
Nga nesig(a) ekigambo kye,
Kammulage buli kintu,
Mu kiseera ky'okusaba.
Kye kiseera ky'okusaba,
O'ngumyenga mu bikemo;
Oyimus(e) omwoyo gwange,
Ondage amaka gaffe.
Bw'olinnyambaz(a) ogutafa.
Ng'ompadde ekirabo kyo,
Ndiyimba n'essanyu lingi,
Nga njija eyo ewaffe.