![Nsibide kugwe](https://source.boomplaymusic.com/group2/M00/58/0B/rBEeM1ofm9mAVzdwAADJBtsQiAg851.jpg)
Nsibide kugwe Lyrics
- Genre:Reggae
- Year of Release:2017
Lyrics
Nsibide kugwe - Mariam Ndagire
...
Suubiza nze nkusuubize
Mu bikolwa omutali bbala
Olayire nti toli njabulira
Nga waliwo akabi akazze gyendi
Nange bwentyo kanneyame
Nti ndyomu bwenti avumula endwadde
Eziba zikulumbaganye
Kansuubire nti toli njabulira
(Bwenva ku ggwe) Ate mba (ndaga wa?)
Sisubirayo wadde akusinga
(Mu mutima gwange) mulimu gwe (wekka)
Nange bwentyo kankwefuge
Nsibidde ku ggwe ssebo ebbanga lyonna
Tuliba naawe
Tusanyuke tujaguze
Ly’essanyu eritusaanira
…
Nkwenyumirizamu dear
Mu bikolwa awamu n’empisa
Okuva lwennafuna ekifaananyi, eky’abaana baffe
Nange bwentyo kankwagale
Kuba mmanyi nti teriba mulala akwenkana
Wadde akusinga
Ne byookola byewuunyisa
(Wewale) kubanga oyita bwomu
(Ekyo kireke), kuba nange bwendi
(Mu byokola)
Manya nange gyendi eno
Kuba gw’onsuubiza, oh maama
Nsibidde ku ggwe ssebo ebbanga lyonna
Tuliba naawe
Tusanyuke tujaguze
Ly’essanyu eritusaanira
…
Kyennasuubira laba nakifuna
Nempona okuba mu beewaggula
Nebanjogerera ebikankana nenguma tube fffembi
Nsibidde ku ggwe ssebo ebbanga lyonna
Tuliba naawe
Tusanyuke tujaguze
Ly ’essanyu eritusaanira
Tosuubiranga kya kunjabulira
Mwami wange kankwagale
Abo boolaba, bonna bakulimba
(Nze mutuufu atasangika)
Mwami wange kankwagale, ehh ahh
(Nze mutuufu atasangika)
Bolaba bonna bakulimba
(Nze mutuufu atasangika)
Mwami wange kankwagale
(NMA)
Bolaba bonna bakulimba
(NMA)
Mwami wange kankwagale
(NMA)
Boolaba bonna bakulimba
(NMA)
Mwami wange kankwagale
(NMA)
Boolaba bonna bakulimba
(NMA)
Mwami wange kankwagale, eehh aahh
(NMA)
(Nze mutuufu atasangika)
(Nze mutuufu atasangika)
(Nze mutuufu atasangika)