
Tulina Omubeezi Lyrics
- Genre:Gospel
- Year of Release:2011
Lyrics
Tulina Omubeezi - Worship Harvest Music
...
Tulina omubeezi waffe
Nga atwagala
Akira abaganda baffe
Nga atwagala
Emikwano gyaffe ku nsi
Batutamwa baatuvaako
Naye oyo tatukuusa
Nga atwagala
Buno bwe bulamu bwaffe
Nga atwagala
Yesu okumumanyanga
Nga atwagala
Yatunonya mulukoona
Naatununula ne omuwendo
Naatuleta mu kisiibo
Nga atwagala
Kiki ekimusanyusa era
Nga atwagala
Kwekutuwa ffe omukisa
Nga atwagala
Katugume emyoyo gyaffe
Katutambule nne essanyu
Alitutuusa ewuwe
Nga atwagala
Kulwa erinya lye elya amanyi
Nga atwagala
Tuliwangula abalabe
Nga atwagala
Kale nno tweyongere nga
Okuyimba nti asinze
Asinze Mukama waffe
Nga atwagala