Ekikunyumila Lyrics
- Genre:Spirituals
- Year of Release:2008
This song is not currently available in your region.
Lyrics
Ekikunyumila - Julie Mutesasira
...
wuuuuuuuu
olaaaaayiye
ayiiiiiiiiyeeee ayiiii
...............
Bino mbinyumiza ku mikwano gyange
Abayitako gyempise bonna
Nti bannange olungendo olwo lunyiga ye nga lunyiga
Otambulira namukwegomba
Nga buli akuyitako n'owuwe n'olumwa Entalamule nga buli wamu zetala naye nga temuli wuwo.
Abamu nebakulimbalimba, abamanyi okugeya nebageya.
Newegumya newegumya ogamba kimu nti luliba olwo.
Naye mukama kyaterekera nali ndyawo nandetera bannange ekiwamatula enjuki olugendo nga yali yakintondera
Kati nsaba kisembayo, buli amanyi essaala anyambeko
Ono owange gwampadde amunkumire ate tube nga balongo
oooooooooo
Nkusaba tube nga bumu nga bwofuna ekikunyimra nange bwentyo
Kyenyumirwa
Tusenga kimu nga bwoleeta ekinsesa nange ndeeta ekikunyumira
Nkusaba tube nga bumu nga bwofuna ekikunyimra nange bwentyo
Kyenyumirwa
Tusenga kimu nga bwoleeta ekinsesa nange ndeeta ekikunyumira
Sirimulumya ekyo nkyeyama ne mukama atutadeko eriiso
Era nkima na buli kyenjogera aba akiwulira
Tuli mwewa, atukumire mu bugumu nga tukirako olwazi nga nebweguba muyaga gukunta gutya tegutuyinza
Tukireko banabansaasaana ng'omutima gwo gukubira munze
nga n'ogwange gukubira mugwe era nga wotali tebikola
Ne mukama tumwesigameko wooooowo
Tumusabe atukwatirangako woooo woooo
gyetuvudde yatukuteko wooowoo okutuuka wano
Amagezi nga gampedeko wooowoo omulungi ompabule ngako dear
Tulo tulo nkuyimbirengako wooowoo otulo nga tubuze
Nkusaba tube nga bumu nga bwofuna kikunyimra nange bwentyo
Kyenyumirwa
Tusenga kimu nga bwoleeta ekinsesa nange ndeeta ekikunyumira
Nkusaba tube nga bumu nga bwofuna ekikunyimra nange bwentyo
Kyenyumirwa
Tusenga kimu nga bwoleeta ekinsesa nange ndeeta ekikunyumira
Kati tuli kulyengedde katwekuliise nga tulabye bangi
Nga batandiikira mu kyenda bawunzika nebwamuyita tamuwuuna
Abeyisanga katubalumye nga kati bw'omubuuza munne gyali tamanyi
Nze mazima sibirowoozanganako ng'ebyo ooooo
Nakuzibwa nabulungi siringa abo
Ne mukama tumwesigameko wooooowo
tumusabe atuyambengako woooo woooo
Ebizibu nga bitugudengako wowoow eyaa
Amagezi nga gampedeko wooowoo omulungi ompabule ngako dear
Tulo tulo nkuyimbirengako wooowoo otulo nga tubuze
Nkusaba tube nga bumu nga bwofuna ekikunyimra nange bwentyo
Kyenyumirwa
Tusenga kimu nga bwoleeta ekinsesa nange ndeeta ekikunyumira
Amagezi nga gampedeko wooowoo omulungi ompabule ngako dear
tulo tulo nkuyimbirengako wooowoo otulo nga tubuze
..........................