
Omulembe Gwa Dot Com
- Genre:Folk
- Year of Release:2017
Lyrics
Omulembe Gwa Dot Com - Annet Nandujja
...
Leero amazina ndeesee gamuswaba sirina, nekiwato kyangayadde, abaana bandaze molaalo.
Munazikuba oba tugendere awo omanyi sikyeguya nyoo, nateebula amateera nze, abaana bandaze molaalo, Munazikuba oba tugendere awo omanyi sikyeguya nyoo ngamba engalo abalungi, natyebula amateera nze,
Kati kuba engooma empeeweevu nga ate siyagayaalo wade Nina obusungu, njakuyomba mbiibyamu mpola.
Owange engalabi yo evuze enyumidde mwana wange kululi nali nginyoomye, okubye bulungi mwana watu,
Guno omulembe gunttanudde, omulembe gwa dot com, gwe gunzijye ebuziizi.
Ngenda nembasirikirira mwenemulowooza nti obwongo bwatalaga, mbeera mbalaba jyendi mukamooli,
Omuzadde nasasula fiizi ogenze osome mukwano gwe nodda mukulaaya, nejyosomere otuuka lyoyagadde.
Omusomesa asomesa omuyizi nga gwasomesa munayaye aliku watisapu, kyemuva mufuna riteeke.
Omusomesa asomesa omwana nga gwasomesa munaye Ali ku fesibuuku, alaba bya kiseegu.musiiba mumaloogi ebibandda bya fiirimu mukeera bikeere ,mbu muba mulaba bu soopu, omuzadde nasasula fiizi ogenze osome mukwano gwe nodda mukulaaya ,olikubano ofunisa mbuto,wetegese otya nambeeguya, biseera byo mumaaso, okusoma tawaaza yenyini, otegese otya sembeguya, biseera byo mumaaso, fyuukya yo ogikotogedde, ovudde kusomero watu ate Laba olutuuka otuukira ku TV aaaa yamba ku muzadde, oliyigaddi emirimu nyaboo, nga nakaleega bakakwolere, Nga nobuwale byo mukozi yayoza, aaaa baana mu batuuze, mubatendeke nganokutya katonda ,amagezi gasookera omwo, nawe gavumenti taata, tukusaba sebo otugunjule ku baana, tuwone abo butayimbwa, omwana tomutuziza, nejyasomera asoma na bagwiira, njyagala okimanye nti obuwangwa bwawuka, kati omusuubira kuba atya, ngewabwe wa mukwano gwe balya bawanda, kyava asalawo nasitama ku mmere, mulala bamutuma giiko yaleeta kitiiyo najuliza nti ye tabyawula ,olifumbirwa wa nambanya, emmere olujijula omuwala ateeka kusowani nga yekuba kisenge kye, mbu alya ali kuyintaneeti, omwana tafunye amugamba, nti mwana wange tolya bwooti, kyovolaba nga alya aswankula, erano tafunye amugamba, bakanya kimu mbu emimwa giwumbe, omukazi tasitama ku mmere, nkaabira nsi yange nyabo, nkaabira yuganda yaatu, omulembe nze gunsobedde ,lwooluzungi mulufuuwa ,musinga nebanyini lyo nze sikigaana, kati muyige nokuwata ku mmere ,naye oluzungu mwalukopa, musinga nebanyini lyo nze mbeebaza ,kati muyigee nokutyaba ku nku, era amasimu mwatu mugakwaata muganyiga nokukira abagakola nyabo, kati muyige nokusala kunjala, onotukula otya no jyonabira, ngakungalo enjala namuyimi yenyini, kye muva muwunya anti, owange emisomo byoli guvuunika, oli fumbirwa wa namagwatala, nga newoliridde okutegula kwalema, obulungi kabukulimbe ,olyejukiriza odibidde bwemage, omukyafu mwana wattu nga tagendeka,
Mikwano namulabako omuwala, abange omwana wo musajja oli yagwatala, munange okusoma olwalema, nga yefunira musajja yefumbize, kituufu omwana wo musajja nga yalungiwa, naye nga nobukyafu bwanoga, kuyomba obuyombi nga gwe bapangisa, twamubulirirako awo natukoyesa, yatwediramu mbu wa dot com, mbu bino ebyaffe byakizeeyi, menjogerera obufumbo bwalema ,ali eri atuunda kaboozi.
see lyrics >>Similar Songs
Listen to Annet Nandujja Omulembe Gwa Dot Com MP3 song. Omulembe Gwa Dot Com song from album Omulembe Gwa Dot Com is released in 2017. The duration of song is 00:07:53. The song is sung by Annet Nandujja.
Related Tags: Omulembe Gwa Dot Com, Omulembe Gwa Dot Com song, Omulembe Gwa Dot Com MP3 song, Omulembe Gwa Dot Com MP3, download Omulembe Gwa Dot Com song, Omulembe Gwa Dot Com song, Omulembe Gwa Dot Com Omulembe Gwa Dot Com song, Omulembe Gwa Dot Com song by Annet Nandujja, Omulembe Gwa Dot Com song download, download Omulembe Gwa Dot Com MP3 song
Comments (11)
New Comments(11)
Janet Nambule 0ms5l
hi