![Ngenda Maso](https://source.boomplaymusic.com/group10/M00/06/03/b31fa313f5cc4261a5a8611369d54909.jpg)
Ngenda Maso Lyrics
- Genre:Afrobeats
- Year of Release:2021
Lyrics
Ngenda Maso - Radio & Weasel
...
Nah nah nah
Eehh yeah
Erinnya lyange olisiize enfuufu
Ogambye abantu ebyenyanja byange byentunda bivundu
Amagoba gange gakukwasa ensaalwa
Sso nga maanyi gange
Lwaki oyagala okufuna amangu?
Oyagala binneme
Ebyange byonooneke
Abaguzi badduke
Nfiirwe gw’onyumirwe
Ngenda maaso (nah nah nah nah nah)
Ebirungi biri maaso
Ngenda maaso (forward like a soldier, soldier bwoy)
Ebirungi biri maaso (forward,forward, listen to me)
Lemme say
Abantu bansobedde
Okukyuuka tekitwala budde, woi
Amaaso bakanudde
Mbalaba babala ku zenkoledde, woi
Omutonzi yanjuna nze
Kuba obuyinza buli gyaali, woi
Oyagala binneme
Nze nfiirwe
Gw’ojaguze
Oyagala nkaabe
Nze nkogge
Gw’ogejje
Oh naye abantu
Bafuuse abantu kale
Oh naye ebigambo
Bifuuse ebigambo kale
Ngenda maaso
Ebirungi biri maaso
Ngenda maaso
Ebirungi biri maaso
Olutambi lukyuuse nzingulula
Nange binsobera
Ab’oluganda baawukana
Beesanga beetomera
Natandika okwekozesa
Bannonya ng’ensowera
Naye abantu
Bafuuse abantu
Naye ebigambo
Bifuuse ebigambo kale (Listen to me)
Chatty chatty mouth
Me want to know your culture
Chatty chatty chatty chatty chatty chatty mouth
Me want to see your papa
Chatty chatty chatty chatty chatty
Ngenda maaso (Gw’atunda amandaazi, wadde ovuga kagali)
Ebirungi biri maaso (beera n’amaanyi)
Ngenda maaso (Omuwanvu n’omumpi, omuddugavu n’omweru)
Ebirungi biri maaso (beera n’amaanyi)
Ngenda maaso (Oh naye abantu, bafuuse abantu kale)
Ebirungi biri maaso (Oh naye ebigambo, bifuuse ebigambo kale)
Ngenda maaso (Oyagala binneme, ebyange byononeke)
Ebirungi biri maaso (Abaguzi badduke, nfiirwe gw’onyumirwe, yeah)
Nah nah nah nah nah