Enkuba Mu Ddungu Lyrics
- Genre:Afrobeats
- Year of Release:2017
Lyrics
Enkuba Mu Ddungu - Elly Wamala
...
Omwagala era buli kiseera omulowooza
emmaali ogabira oyo
ate ye akukongoola kitalo nnyo
omubalira olugoye olulungi omugulira
so ng'oyo gwayagalira ddala
ali bunaayira
omulowooza era bwebuziba nga tomulabye
totereera toba namirembe
ozimba newepima
kitalo nnyo
omububira bwolaba amusekera oyomba
nabuli gyalaga omulinda
olunda olundira ki
okwagala oli nga takwagala mu mmeeme
obanga enkuba ettonya mu ddungu
kwana nga emikwano egitaakulimbe
ono takwagala gwe ate gy'oli tomanyi nti akulimba
nti switi switi nkwagala so ng'oyo gwayagalira ddala ali bunaayira
omwogerako nti wafuna omulumgi asinga
nga yeno ali eri ageya nti akkooye akunyiyiddwa
kitanyo bwogendayo
nti nsanyuse okkulaba akulimba
anti oyo gwayagalira ddala ali bunaayira
osasula ennusu bisatu ku mulyango
omuyingize mu dance
bwatuuka eyo afukuuka bwomugamba
nti obudde butuuse obuddayo
gwe kale ddayo oba oyagala kiyaga anandeetako
okwagala oli nga takwagala mu mmeeme
obanga enkuba ettonya mu ddungu
kwana nga emikwano egitaakulimbe
ono takwagala gwe ate gy'oli tomanyi nti akulimba
mbu switi switi nkwagala so ng'oyo gwayagalira ddala ali bunaayira
okwagala omuntu ye nga takwagala mu mmeeme
obanga enkuba ettonya mu ddungu
kwana nga emikwano egitaakulimbe
ono takwagala gwe ate gy'oli tomanyi nti akulimba
nti switi switi nkwagala so ng'oyo gwayagalira ddala ali bunaayira
oo-oooo-oo-o