
Ebya Ssava Lyrics
- Genre:Gospel
- Year of Release:2023
Lyrics
Tulibatambuze wano ekya tuvawo
Gwe kati kola byokoze
Ngokimanyi tetusigazawo
Kiseera kya kubereewa
Netunyimirwamu
Kubitutegenyiza entakera
Calendar Yobulamu Obwa bulyomu
Mukama yagyesigaliza eyo
Mumukono gwo ye
Tomanyi lwo ligenda
Ekisinga muwe Obulamu bwo
Ebye ensi eno Bigwawo
Mukama, Bumuwe obulamu bwo
Muwe omwoyo gwo
Mukwase byona, Kirigaasaki okulya
Ebyasaava Munsi nofiirwa
Obulamu obujja
Nkimanyi ebyensi bigwa
Ebye nsi eno Bikooma
Tulina gyetugenda
Mu bwakabaka bwe
Obwemirembe twesunga
Ffena otutuseyo
Bye twemaliramu
Banji kwetweyunirira
Mbu kasita tuba nebyo Kyesinga
Muli netwelabira nti
Banji abirekebyo
Nga ababirinako akaseera
Omenyekera ki nebyo
Ebigwawo Ofiirwe
Omwogwo guzikirire
Wandifunye akaseera ofumitirize
Okimanye Mukama Akwetaaga
Ategese nabinji byetutamanyi
Eri ebawedeyo ensi nebagyegana
Nabayimirirawo kululwe
Nabafuga okwegomba kwo mubiri
Gwe wandilabuse ekiseera kigawayo
Mukama nomuwa obulamu akulembere
Owonye ememe yo okuzikirira
Olunaku lwalisarira ababi omusango