
Bweba Esonze Lyrics
- Genre:Gospel
- Year of Release:2022
Lyrics
Bwoba tonakoowa nsi eno sirika tonyega
Waliwo abakoowa eludde eno twetamwa dda
Tulino obulumi munda mulimu amaziga
Gafuuke ebizigo byetwesaaba buli nkya
Oba amazzi getunaaba mu maaso
Enjuba buli lwevaayo bweti byebimulisa
Ebyo okudde ewaffe eka byebinyumira
Emboozi zonna ezensi kwendi mwatu setaaga
Ensi kuffe yafujjo ngirabye tesaaga
Etukanulidde amaaso emaliridde okutta buli ajja
Tetutidde mu myaka wadde nabano abamanya
Oba ani oba gwe ani eyo byona yo tefaayo
Bweba esonze tepowa paka ngo owedde
Mukama tusaba okomewo kyasuka dda tutwale eka
Manyi ebibi ebyange bingi mbakira abonoonyi
Ekisa kyo mukama kyoka kyoza byona
Nsabye onfuule ekitonde ekigya
Nziza nate gyoli leero nfula omwana
Onkozese ebyo byoka gwe byo oyagala
Nkusuute nga mukama awatali kiweebuuk'era