![Tobita](https://source.boomplaymusic.com/group10/M00/10/31/8cca934554ea43b9a382571d2256cad3_464_464.jpg)
Tobita Lyrics
- Genre:Gospel
- Year of Release:2009
Lyrics
Tobita - Ngooma Joseph
...
Yeah-hey, yeah-hey
Mmm
Yeah-hey, oh-oh, mmm-hmm
Abantu balina amaziga
Eri ku mitima
Bangi ensi ebayiye
Naye Mukama ayanguwako abasanyuse
Ensi nebwekugaana ng’olina Katonda
Byonna bya mpewo
Gwe laba Yesu bamugaana
Naye amaliriza ye Kabaka
Kati mukwano wummula
Gw’abadde n’entalo m’mutima
Muleke akulwanire
Entalo zaffe yazisobola
Nze mmanyi Mukama
Talireka babe m’maziga
Y’ensonga lwaki yajja
Nakuwa obulokozi
Oyo ajjawo ebivume
Bano abayonta nabawa amazzi
Abayala nabawa emmere
Essanyu lyakuletera terikoma
Abalabe bo bangi
Naye abali ku lulwo bangi okusukka
Olinga abikooye
Naye tobita Mukama asobola nnyo
Yadde ensi ekugaanye
Ekyo tekijje Mukama ku luuyi lwo
Falaawo yalina amagaali mangi
Naye gonna Mukama yagamalawo
…
Ono yali mwana wa malaaya Yefusa
Mu kika ekinene
Banne bamugoba abasegulire
Ndowooza bamulaba nga kikolimo
Nadduka olubabu
Teyayomba oba okulwaana
Mpaka mu bantu
Bali abatagasa abanyomebwa
Kyemmanyi ekikulu
Yali musajja mulwanyi
Ng’era alina Katonda
Kale nga tajugumira
Laba lumu lwewagwawo olutalo
Mu bali ate abamugoba
Ebintu bya Mukama bikutabula
Laba ate baddukira yye abalwanire
Eyalina ekivume
Ndowooza n’abato nga bamusooza
Nga talina awolereza
Yamaliriza y’abafuga bonna
Abalabe bo bangi
Naye abali ku lulwo bangi okusukka
Olinga abikooye
Naye tobita Mukama asobola
Yadde ensi ekugaanye
Ekyo tekijje Mukama ku luuyi lwo
Falaawo yalina amagaali mangi
Naye gonna Mukama yagamalawo
…
Ow’oluganda Kasozi namulaba
Era mumanyi
Ewabwe bamugoba lwa kulokoka
Hajji namuwerekeza akabazzi
Ng’era bwomanyi omusota
Tebikwatagana na mafuta
Ne ssenga we eyali amujunye
Naye namusibirako amukooye
Bambi mu kaseera ako
Yakwaata ekkubo
Nagamba Mukama
Yonna jontwala twala
Yayitanga Mukama emisana n’ekiro
Mu nnaku ennene
Yesu nasembera yawulira
Namugamba mbulira ebizibu byo
Yesu namukyusiza oluyimba
Namugamba nze ndi ku lulwo
Ne bato be nabawa obulokozi
Tebakyasaala basinza Yesu mwana wange
Abalabe bo bangi
Naye abali ku lulwo bangi okusukka
(Ehh, bangi okusukka)
Olinga abikooye
Naye tobita (tobita) Mukama asobola nnyo
(Asobola nnyo Yesu)
Yadde ensi ekugaanye
Ekyo tekijje Mukama ku luuyi lwo (Tekimujjaawo Yesu)
Falaawo yalina amagaali mangi (oh oh)
Naye gonna Mukama yagamalawo
(Eh, yagamalawo Yesu oyo)
Abalabe bo bangi (bangi naye)
Naye abali ku lulwo bangi okusukka (bangi, oh)
Olinga abikooye
Naye tobita Mukama asobola nnyo (asobola, asobola)
Yadde ensi ekugaanye
Ekyo tekijje Mukama ku luuyi lwo
Falaawo yalina amagaali mangi
Naye gonna Mukama yagamalawo
…